AMAWULIRE KU SAAWA KKUMI NEMU NE ORANGE Ssenkagale w’ekibiina - TopicsExpress



          

AMAWULIRE KU SAAWA KKUMI NEMU NE ORANGE Ssenkagale w’ekibiina kya People’s Development Party Dr Abed Bwanika ayagala gavumenti ekendeeze ku muwendo gwababaka ba palamenti ngeyita mu kutondawo palamenti eyawaggulu giyite senate ngeno yakwetabwamu abakiise babbiri okuva mu bitundu 15 okwasinzirwa okukola Uganda mu 1962. Omusumba Abed Bwanika agamba nti kino kyakuyamba okugabanya enkulakulanya mu kyenkanyi wamu nokukikirira obulungi banauganda bonna. Wabula Bwanika agamba nti gavumenti yandikyusiza mu mateeka ng’ababaka ba palamenti balondebwa okusinzira ku bungi bwabantu bebakikirira so si kusinzira ku muwendo gwa district n’amassaza nga bweguli ensangi zino. Ssenkulu wa ssettendekero we Makerere omukenkufu Mondo Kagonyera akayukidde abakiise ba Uganda mu mawanga amalala wamu ne banauganda abaweebwa obukulu mu bitongole byensi yonna abakozesa ebifo byaabwe okukolokota gavumenti kyagamba nti kityobodde nnyo ekifananyi kyeggwanga ebweru. Kagonyera agamba nti bangi ku bano balemeddwa okwawula gavumenti ku ggwanga wabula nebesibira ku kyakunafuya gavumenti so ngate gavumenti zivaako kyokka ng’ebigambo byabano biba bimaze okwonoona erinnya wamu nekifananyi kyeggwanga. Kampuni yamafuta eya Tullow Oil etegezeeza nga bwegenda okujjulira oluvanyuma lw’okuwangulwa mu musango gwebadde ewerenemba n’ekitongole ekiwooza ky’omusolo ki Uganda revenue authority olunaku lweggulo. Kampuni eno yali yatunda emigabo gyayo era nga yalina okusasula omusolo gw’emigabo gino gya kasirivu 1 kyebadde ewakanya. Loodimeeya wa Kampala Erias Lukwago ayagala gavumenti eyongeze ku mutemwa gw’ensimbi zewa ekitongole kya KCCA okusobola okukola emirimu gyekibuga. Gavumenti ewa ekitundu 1% ku by’embalirira y’eggwanga eri emirumu gy’ekibuga wabula nga kati Lukwago ayagala gavumenti ebawe ebitundu 2% kyagamba nti kigya nakukendeeza ku buzito bw’emisolo ekitongole gyekibinika banakampala mu kawefube wikufuna ssente eziddukanya emirimu gy’ekibuga. Waliwo enzikirizanya eyokukomya okulwanagana wakati wa Yisirayiri ne Palesitina ewtukiddwako. Okusinzira ku bakungu mu Yisirayiri, ebyokulwana birina okukoma okutandika n’olunaku lw’enkya ku saawa mwenda ez’olweggulo. AMAWULIRE KU RADIOCITY: ENSI TUGISEMBEZA AWO WOLI
Posted on: Thu, 17 Jul 2014 14:15:08 +0000

Trending Topics



#.

Recently Viewed Topics




© 2015