Ebirungo omubiri bye gufuna mu kwegatta biguzza buto | Jul 23, - TopicsExpress



          

Ebirungo omubiri bye gufuna mu kwegatta biguzza buto | Jul 23, 2013 EMIRUNDI mingi abaagalana bwe baweza omwaka nga bali mu bufumbo, omukwano gwabwe guggwaamu ebbugumu, era abamu batuuka ne ku ssa ly’okwekuba omugongo! Kino kya mutawaana eri obufumbo bwabwe, kuba omu oba bombi bayinza okutandika okuwankawanka. Abasawo bazudde nti okunyumya akaboozi k’ekikulu kintu kikulu nnyo era kyongera okunyiriza abaagalana. Okunoonyereza okwakolebwa Dr. Weeks, okuva mu ddwaliro lya Royal Edinburgh e Bungereza kukkaatiriza nti abantu abanyiikirira okunyumya akaboozi naddala nga bakuliridde mu myaka tebakaddiwa mangu ate bawangaala. “Omuntu ew’ekika kino bw’omulaba, tomuwa myaka gy’alina kuba gyetoolako wakati w’emyaka etaano oba musanvu ekibaleetera okuwangaala. Okunoonyereza kuno kwakolebwa abakugu mu kwekenneenya n’okusengeka embeera z’abantu mu mukwano nga bakukolera ku bantu abasoba mu 1,000 omwali abaami n’abakyala ab’emyaka egy’enjawulo. Oluvannyuma baakizuula nti kubbo, abantu 50 ku 100 abanyumya akaboozi emirundi egisoba mu esatu mu wiiki, bali wakati w’emyaka 40 ku 50 kyokka nga balinga ab’emyaka 30 ate ng’abamala ebbanga eddene nga tebanyumya kaboozi bakutuse n’okugwa embugubugu. Dr. Patric Ssenjobe owa St. John Ambulence ku Buganda Road agamba nti abantu bangi abagudde mu mukwano oba okufumbiriganwa n’omuntu olw’okulabika ng’omuto, wabula akizuula buyise nti ali ku nkang’a. Annyonnyola nti essanyu omuntu lyafunira e Namboole lya mugaso nnyo eri obulamu era lya lubeerera ekikuzza obuto. “Mu mbeera eno, buli lw’oyingira ekisaawe naddala nga weeyagalidde omubiri gufulumya ekirungo eky’obutonde ekireeta essanyu ebiyitibwa ‘endorphins’. Ekirungo kino kiyamba okutta obulumi mu mubiri ekitebenkeza enkola y’ebitundu by’omubiri. “Eno y’ensonga lwaki bangi bwe mumalamu akagoba otulo tubatwalirawo, ate ne weebakira ddala bulungi. Mu kiseera kino, omubiri gutandika okujjanjaba ebitundu ebiba binafuye ne biwaga buto ekiguzza obuggya”, bw’atyo bw’annyonnyola. Agamba nti kino kiyamba okumalako obukoowu, ebirowoozo oba obweraliikirivu ekiwagira omubiri okusala emyaka. Agattako nti buli lw’onyumya akaboozi, omubiri gufulumya ekirungo ekitonda omuntu. Kino kiyamba okuyooyoota n’okukuuma olususu nga lulabika bulungi ekikuyamba okusala ku myaka. Mu ngeri y’emu, ekirungo ekitonda omuntu bwe kituuka ku lususu, terukaddiwa, kuba kiruyamba okwereega obulungi ne lutafuna nkanyanya. Olw’okuba nti omuntu akozesa amanyi mangi ngali mu kisaawe, kino kiwagira omubiri okusala amasavu amabi ekitebenkeza entambula y’omusaayi mu mubiri n’obeera mulamu bulungi. Ekirala buli lw’onyumya akaboozi kiwagira enkola y’omutima ekiguyamba okukasuka obulungi omusaayi mu bitundu by’omubiri eby’enjawulo ekikusobozesa okuba omulamu obulungi n’okuwangaala. Okunyumya akaboozi emirundi egitakka wansi w’esatu buli wiiki kikendeeza ku mikisa gy’okufuna obulwadde bw’omutima. Mu mbeera eno omubiri bwe gusala amasavu gukola ebirungo ebiyamba okugumya obwerinzi bw’omubiri n’oba mulamu bulungi ekikuzza obuto. Ate ye Meddie Galabuzi Mulungi omukugu mu kuyooyoota ensusu z’abakyala okuva mu Medie- Pes skinline Clinic e Nateete agamba nti olususu bwe luba olubi okaddiwa wabula okwegatta ne mutuuka ku ntikko kiyinza okukugoba ebizibu by’ensusu. Galabuzi agamba nti bw’otuuyana ng’oli mu kisaawe kiyamba okufukirira n’okulongoosa obutuli bw’olususu n’okufulumya ebicaafu mu mubiri ekiyamba olususu okudda obuto. Okunyiikira okwegatta kiyamba okudaabulula olususu kuba ekikolwa kino kirung’amya entambula y’omusaayi n’omukka omulungi (oxygen) mu mubiri ekiyamba olususu okufuna ebiriisa ebiruyooyoota ne lushanana ekikuyamba okusala ku myaka. Ate buli lw’onyumya akaboozi, omubiri gukola ekirungo kya ‘collagen’. Kino kiyamba okuyooyoota olususu ne lutafuna bubonero bwa bukadde, omuli omubiri okuyiikayiika n’okugwa embugubugu. Hussein Kateregga omukugu mu kujjanjabisa dduyiro agamba nti akaboozi kakola nga dduyiro era kasala amasavu n’okogolola ebinywa, naddala nga mukozesezza sitayiro ez’enjawulo.
Posted on: Tue, 30 Jul 2013 04:19:04 +0000

Trending Topics



Recently Viewed Topics




© 2015