Madam speaker nnyabo nsaasira naye nfudde ensonyi! Ndi mu America - TopicsExpress



          

Madam speaker nnyabo nsaasira naye nfudde ensonyi! Ndi mu America eno naye nnyazaala wange anzigiddeyo enjala era alabika amaze okuleeta e niyyah eyokuntunuza mu mbuga ya sitani! Abakyala bulijjo si mwe muwoza mbu okusanga nnyazaalawo wakiri osanga ekibira? Ono ate ye ayitiridde baaba kubanga avudde mu kukomaga emituba kati ayagala kukomaga nsambya! Nnyazaala wange ne muwalawe bwobalaba olowooza nti omu yadda ku munne! Baafaanagana nnyo oyinza nokulowooza nti agaasaaka ge gattula! Balungi kaalaala babafukako amazzi noganywa! Wennawasiza mukyala wange nnyina yali yafumbirwa kyeruppe. Naye no nga bwomanyi nti omukwano guggwaawo nga sukaali bwaggwaawo, omuzungu yatuuka natamwa era nasalawo alinnye ku kya wakati. Lumu nnakyala agenda okuva gye yali atabaalidde obuninkinibwe yabusanga mu black bag awo ku lubalaza era ekiwejjowejjo ngali waffe ku address! Nga bwe bagamba nti nannyini mufu yakwata awawunya, era nti nekidiba kidda wabokyo, twakkiriza okumubudamyako akaseera nga bwayiiya. Wabula ku luno lwenkakasizza nti omunnyarwanda tasalirwa ku kibanja kubanga nnyazaala alabika amaliridde amaka okugeekomya! Mukyala wange omulimu agukeera nga Misa, era afuluma na nkoko. Nze musajjawo ogwange ngutandika mu makola ga byamisana. Kyokka ye nnyazaala omulimu gwabula akeera kukuba misota ku kyalo. Awo no wewavudde emberebezi, kubanga mukyala wange obuliri akeera bukeere asobole okuwungulako otuwera. Nze olwokuba sikeera, nsalawo okusigala mu ddiiro ntwalirize ku budde. Nnyazaala wange alinga gwe baalaalika nti tv tulina kugiraba babiri! Muwalawe olweyokya ekisenge nga naye yeyokya ekikye ngasuulamu bu kkookonyobwe bwe yayambaliranga omuzungu mbu amuthabbalathe, olwo ngadda mu ddiiro ngalobera ku tv! Entebe tulina emu etuuza abantu babiri, kale agituula e mashrik nange ne ngituula e maghrib, olwo nasalako nakulaga enkuutabuliri eyamyuka okukira ettungulu! Yekwata mangu remote control olwo natandika okunonya bu Chanel obuliko film zayagala, olwo natandika okuzoogerera nga gyobeera nti nze sitegeera: Oyo nno omukazi kati alabika ayagala! Omulaba bwe yemoola? Kati alabika ayidde! Yomusajja abaddeki azze mu kusumagira? Kati oyagala agikuteere ku sowani? Kale Nnyazaala oyogera otya bwotyo awali mutabaniwo? Bwalaba beenuuna emimwa olwo ngatandika okwekuteera nokusiiyiriza nga kwatadde nokusaalirwa mbu, maamaaa! Munkissingidde mu mutima nammwe! Munzise! Omuwulira Nnyazaala? Olumu bwendaba mukyala wange ayingidde ekisenge nga nange nkyeyokya. Omanyi bannyinaffe mmwe muli bazibu. Otulo bwe tubakwata temwagala kubazuukusa kusasula bbanja. Kale nange mmutabaala tanneebaka nsobole okujjako eyababaazi. Naye era olumala bwenti mpalirizibwa okuddayo mu ddiiro nsonde otulo. Ssebo nnyazaala mmusanga azimbye okukira obudde ngalinga gwe baliiridde ekikye! Hmmm! Nnyazaala yegunjulira okuntegekera bu breakfast obwakabi! Ate anyumirwa nnyo okutuula awo nendya nga bwantunuulidde. Kyokka ebbanga eryo lyonna abeera akyayambadde obuntubwe buli bu see me there bwasulamu! Alina obuyimba bwanteerako buli lunaku bweyakwata obukusu, kubanga abuyimbira wamu ne kabuyimba, mbu simanyi Kandahar, mbu simanyi jangu ovuge akaseerezi daddy, mbu simanyi Mzee Sefolooza asinga nabatiini, nebirala bingi ebimukyamula nasituka nazina nokuzina. Ate azina bubi nnyo kubanga azina ayawula ate nga bwasembera, era olumu yazina muwogola nayawulira waggulu nankuba emmuliso yekifenensi ekyakula ne kiwola nga kyonna kyakukunala kungulu kiti kiringa balugu! Bwatuuka ku mazina amaganda ate ayitirira! Agazina nayambuka nga bwakkirira nga bwataddeko nobuseko obuwoomereza. Olwo nalyoka ambuuza nti olabye mutabani bwemmanyi okukyusa ekiwato? Muwala wange amanyi okukikyusa bwati? Iiiiii, bannange! Kati oyo omuddamu otya? Kwenvudde okwekyawa mpandiike bino kwe kuntabaala mu kisenge gyensula. Mbadde ndi omwo neegalaamirizza mpoomereza nnyini, nakonkona. Tanninze na kumuggulira nga yayingidde dda! Mbu ssebo nkimanyi oli mukoowu era mukkufu naye jangu nze ondyeko breakfast yange gyenkutegekedde nga tennawola! Asibye akakete alinga ali ku beach, taleeze, kyokka nga ne butida ogiraba emusibye kantuntunu talina wassiza! Nakuba Buganda teyediimira bwereere, ku luno yediimye Katono ne Kayihura akimwe! Essimu evuze amangu ago nga banneetaaga ku mulimu yensaze ku mugwa. Nange bwenfunye akaaganya kwekwekubira enduulu mu mbugayo. Mulabye mutya bannange; mmwasanguze ewa muwalawe tebaatabuke? Ngomusajja omuganda, siyinza kukola kikolwa kya kivve bwekityo. Ekirala nnaalongo wange mmwagala nnyo; kale akiwulira atya? Nekisinga byonna, ntya Allah! Tukoze tutya bannange; tumugobere ebweru, tetuuwemuke? Bwensirika, mutawana; bwembyasa, nabwo bulwa! Ono tafuuse Ssemusota guli mu ntamu? Ekisa kitta, nenge etta. Abasembeza abenganda nemikwano mwegendereze nnyo. Kyova olaba ngobusiraamu butukugira ku nsonga eyo. OYO MUMUWE KUMAGEZI WADDE EMBOOZI MPANVU NNYO
Posted on: Tue, 05 Aug 2014 16:48:11 +0000

Trending Topics



Recently Viewed Topics




© 2015