BUKENYA 7pm 01-JULY-2013 Omukulembeze w’eggwanga - TopicsExpress



          

BUKENYA 7pm 01-JULY-2013 Omukulembeze w’eggwanga YKM asaasidde ab’enganda z’abantu abaafiiridde mu kabenje k’ekimotoka ky’amafuta ekyaagudde mu kitundu kye Namungoona mu kiro ky’olunaku olw’omukaaga. Pulezidenti Museveni bino abyoogeredde mu kitundu ky’ennyini awaagudde akabenje kano bw’abadde akirambula, amangu ddala nga yaakava mu ggwanga lya Tanzania gyeyabadde yagenze okw’etaba mu lukungaana lw’ebyoobusuubuzi olumanyiddwa nga Global International Smart Partnership Dialogue. Okutuuka mu kitundu awaagudde akabenje kano ng’awerekerwako omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi, Pulezidenti Museveni agambye nti gavumenti yaakuwaayo obukadde butaano eri buli maka g’abaafiiridde mu kabenje kano, ziyambeko mu kuziika. Wabula Ow’ekitiibwa Pulezidenti anenyezza abavubuka olw’okujaajaamya obulamu bwaabwe nebatuuka n’okweeyiwa mu kifo nga kino awaagudde akabenje awatali wadde okutya, bwaatyo naabakubiriza bulijjo okw’enyigira mu mirimu egy’okubakulaakulanya n’okubatwaala mu maaso. Oluvannyuma Pulezidenti Museveni yeegattiddwako Minista w’ebyobulamu Dr. Ruhakana Rugunda amukulembeddemu nebakyaalirako abalwadde abaafunye ebisago mu ddwaliro lye Mulago naabasaasira, nga mungeri yeemu atuuseeko ne mu ggwanika lye ddwaliro lino naalaba emirambo gy’abagenzi abaafiiridde mu kabenje k’amafuta. Okunoonyereza kwa poliisi okw’akakolebwako kulaga nti Abantu abakunukkiriza mu makumi 40 beebaakafiira mu kabenje kano, nga n’abalala abaafunye ebisago bagenda mu maaso n’okujjanjabibwa mu ddwaliro ekkulu erye Mulago. Ends.
Posted on: Tue, 02 Jul 2013 11:52:23 +0000

Trending Topics



ght:30px;">
major gambling cities
The Ron Clark Cerita mengikuti kisah inspiratif energik, guru muda
elow is a new video teaching on the Biblical Doctrine of
low roar 發現他們後一直聽 we were just kids with
I swear these idiots that want to be Idols dont give a ish about

Recently Viewed Topics




© 2015