Ssebuganda kigambimbwa nti ye Mwana wa Kabaka Kintu omukulu era - TopicsExpress



          

Ssebuganda kigambimbwa nti ye Mwana wa Kabaka Kintu omukulu era yamuzaalira Ttula, Kawempe, Kyaddondo yadde nga mu biseera ebyo olubiri lwa Kabaka Kintu olukulu lwali Kanyanya, Kyaddondo. Lumu Empologoma zaakabira e Kasaalirwe Kintu naalagira mutabani we Ssebuganda ne banne bagende baziyigge. Kyokka Kintu ne mutabani we Ssebuganda bwe baalya ennyama yempologoma zino ne balwala nnyo. Kintu kwe kugamba nti Empologoma gufuuse omuziro gwabwe. Na guno gujwa Omulangira Namuguzi Ssebuganda mutabani wa Kabaka Kintu yeddira Mpologoma. Omuggo Ssebuganda gwe yakubisa Empologoma gwafuukamu ejjinja Luwaga erisangibwa e Lwadda. Bwe tuliba tumaze okwogera ku baana ba Kintu bonna, tuliraba engeri Ssebuganda gye yafunamu erinnya erya Namuguzi.
Posted on: Sun, 10 Aug 2014 08:49:19 +0000

Trending Topics



Recently Viewed Topics




© 2015