NAYE WAMA KITTUFU HASSAN NDUGA YAYOMBESANYO MUKAMA MULUYIMBA - TopicsExpress



          

NAYE WAMA KITTUFU HASSAN NDUGA YAYOMBESANYO MUKAMA MULUYIMBA LUNO?? OMUGUGGU Mulwetegeleze mulabe>>>> NABBI ekinkeezezza olwaleero nga njagala ondagule ekimbuza emirembe Nkimanyi oli mutume wa Mukama era mutuulako naye awo ku ntebe emu ne munyumyamu Naye nange nzibiraako mu mboozi ze munyumya ne Mukama towuliraganko nga yeemulugunya Nti oba Hassan yansobya kye nvudde mmukuba bbalaayi aboneebone mpaka lw’alyenenya Naye ggwe atalina mukyala nti oba twayagala kw’omu Mukama kiki ondeka okubonaabona Entebe yo etaliiko kuvuganya nti oba otya nti nakwesimbako Mukama ne nkukuba akalulu Nga kye kibuza amakubo g’emikisa gyange nga muli olowooza nti mpagira abakuyeekera Ekiro nabadde nneebase ewange ne nzijukira Mukama by’oyogera mu Bayibuli Nti wawaayo obulamu bwo n’otwala emigugu gyaffe ogituwonye ffe abantu, kirabika ogwange gwasigalira era nkedde Mukama nguleese kati CHORUS>>>> >>>> Mukama ntikkula omugugu Kuba si nze omu ku baakukomerera ku musaalaba Siri munyazi eyanyaga eza Global fund Oba okutta ab’e Kannungu naye kiki mbulwa emirembe? Nnina ekibuuzo kye mbuuza mu mutima gwange nze nsinga bassebabi obubi mu maaso go? Ye nze gw’oleka okubonaabona e Gologoosa gye bakkubira emiggo wandabayo? Siri muganda wa Yuda eyakulyamu olukwe naye buli kizibu kisooka wange Ye abajulizi be baayokera eyo e Namugongo bagamba enku ezaabookya nze nazitema? Okuleka nga luno lunaaba lutwe ensozi z’e Buduuda nze nzitegula okutta abantu Si nze eyatta Muteesa k’abe Omulangira ow’e Toro, Kijanangoma Naye okundekera emigugu gy’agazibu n’otwala egy’abalala Mukama kiki kye nakkola Watuula mu ntebe yo, ggwe n’olowooza emmotoka eziri mu Uganda eyange terina kubaamu? Ye ku nnyumba eziri mu Uganda ne mbulwamu n’akasiisira akange mwe ngalamira? Wagamba awaliba ababiri oba abasatu oliba mu makkati gaabwe Nalinda lw’olikyala ewange oba ekkubo lyabula!! Ndowooza walowooza Piraato asula wange engeri gye yakusalira ogw’okufa ko ggwe kozire ewange! Nnoonya ekkubo erijja ewange oba lyabula nkulagirire Yuda Iscariot ne Pilaato tebasula wange totya teri ttabbu Eno embeera njikooye taata, oba kitange yaliko ku bakukuba nsabye onsonyiwe Oba maama ye yakkuma olwendo lw’amazzi naye musonyiwe taliddamu kikola Naye omugugu gummenya ssebo kitange gunzitta.
Posted on: Tue, 05 Aug 2014 10:24:53 +0000

Trending Topics



Recently Viewed Topics




© 2015