Wali obadeko ne kyaliiwo nga awunya nyo akamwa, nga nebwayayuuya - TopicsExpress



          

Wali obadeko ne kyaliiwo nga awunya nyo akamwa, nga nebwayayuuya obuyayuuya ensowela zikwaata ku nyindo? Ffenno twamuyina nga bamuyita Mujjuzi. Ewaka Ku base twaali twamukazaako lya kawunyemu, naye nga kawunyemu bwatandika okunyumya nga oyinza okulowooza mukamwaake balundilamu embuzi zino zi sseddume. Lwaali lumu nga angwikiliza ewaka nga ndiyo nzeka. Yatandika okunyumiza filimu, neneebuuza eneggwa di, mumutima nengamba kangume filimu egwe. Ngenda okuwulila nga mu filimuye mulimu elinya Jack Bouer, simanya president biki, okukinonyelezaako obulunji nga ali ku 24 Season 1 Episode 1. Natya nyo!! Buli episode namugambanga nti Kawunyemu eyo episode najilaba olwo ye nga agenda kundala. Omutima gwangamba nti muwe obutwa bwemesse affe, naye nga nabwo sibuyina......Anyway, ki story kiwanvu, nkisanze ku ka paper kenonze wano mu corridor ku National theatre.
Posted on: Fri, 02 Jan 2015 16:26:11 +0000

Trending Topics



Recently Viewed Topics




© 2015