WABULA OKUKWANA!!!! Olutuuka nga baleeta abaana okukola - TopicsExpress



          

WABULA OKUKWANA!!!! Olutuuka nga baleeta abaana okukola “School Practice” ngabaleeteramu eggwala ngalitiba butibi. Omu kubasomesa ababeerawo bulijjo “Regular teachers” Tr. Lugemwa nayagala alikwane era bwatyo olunaku lwali lwa kukuna nagenda e Masaka mu Baron Supa maketi nagulayo “apple” nagireeta. Nga akomyewo yanoonya akadde wasobolera okuweera omuwala oli apple nekabula. Naye nga Katonda bwatalya nguzi enkeera kulwokutaano ekawungezi kyasalawo kiyigirize abaana oluyimba. Omusomesa oli olwalaba nga ekiwala kiri kyokka n’agenda ewuwe nanona anona apple nawandiika nakapapula nga kasaba omuwala okumusisinkana ekawungeezi mu Kayembe akaali okumpi n’essomero era nagiwa omwana abimutwalire. Naye nga omusomesa akyali ewuwe gyeyali anonye apple, “Tutor” yajja okulambula ba ‘Student teachers” era ekiwala kino nakiyitayo mu kibiina nekisaba omusomesa omukyala omukadde ( regular teacher) agira akiyimbisizaako kimale okulaba “Tutor” kyagamba. Olwokuba omwana Tr. Lugemwa yamugamba nga amutuma nti ebintu abitwalire omusomesa ayimbisa abaana omwana bweyatuuka ng’abiwa Tr. Esteri eyali ayimbisizako kiri ekiwala. Tr. Esteri yewunya nnyo Tr. Lugemwa okumuwereza apple, okusoma mukabaluwa nga kamusaba okumusisinkana mu kayembe nebimusobera naye nalowooza nti kirabika nga bwali “ senior mother” waliwo ensonga emwetagisa. Tr. Esteri nagamba omwana addeyo amumwebalize. Tr. Lugemwa omwana olwamugamba nti akugambye webale nnyo ayayayaya essanyu nerigira okumutta era natandika kuwominga. Ssaawa olwaweera bbiri ezekiro Tr. Lugemwa nga agenda mukayembe. Naye aba tannatuuka agenda okulengera ng’alabayo omuntu atudde maama maama maama amasanyu negamweyongera. Agenda okutuuka mukayembe nga Ku Tr. Esteri kwalaba kwekumubuuza “okolaki wano???” Kko Tr Esteri “ tontegedde??” Tr. Lugemwa namugamba nkutegedde naye mpamu kukadde nina gwenjagala okusisinkana wano. Tr. Esteri namugamba teri buzibu naye kasooke amwebaze amugambe nekyamuyisiza alyoke agende. Tr.Lugemwa namugamba tanaba kumuyita era nti talina kyeyamuwadde ye Esteri kwekumujjukiza apple gyeyamuwereza. Lugemwa awoweyazirikira
Posted on: Thu, 15 Jan 2015 18:37:40 +0000

Trending Topics



Recently Viewed Topics




© 2015